Okunoonya abafiira e Kiteezi: Emirambo egy'akazuuka gyiweze 24
Poliisi ekakasizza ng’omuwendo gw’ababantu abafiiridde mu kubumbulukuka kwa kasasiro e kiteezi bwebaweze 24, okuva ku 22 olunaku olw’eggulo.Kyoka nakaakano wakyaliwo ab’enganda z’abateberezebwa okufiira mu kasasiro ono abakyagumbye ekiteezi nga balindirira ob’olyawo Poliisi okubazuula ebisigalira by’abantu baabwe.Polisii etubuulidde nti okunoonya kukyagenda mu maaso, kyoka nga enkuba efudemba y’ebatatagaanyizaamu.