OKUMALAWO ENKAAYANA KU TTAKA LY'EMIZIKITI: Omulangira Kassim ayagala ebyapa bikyusibwe
Omulangira Kassim Nakibinge mwenyamivu olw’entalo ezeeyongera ku ttaka ly’obusiraamu mu ggwanga. Ono kati agamba ebyapa by’attaka ly’emizikiti bisaanye bigyibwe mu mannya g’abantu sekinoomu. Nakibinge bino abyogedde mu kugulawo omuzikiti gwa Masjid ogusangibwa e Nalukolongo.