Okukuumira abaana ab'obuwala ku ssomero: E Mpigi badduukiriddwa n'ebikozesebwa mu nsonga z'ekikyala
Bannakyewa bakubirizza abazadde n’abasomesa okufuba okubudaabuda n’okudduukirira abaana ab’obuwala nga bagenze mu nsonga zaabwe kibasobozese okusoma obulungi.
Bano bagamba nti abaana abawala bangi balemeddwa okumalako emisomo gyabwe lwa kusomoozebwa mwebayita nga bagenze mu nsonga z’ekikyala ate ng’olumu tebalina abayamba.
Bino bituukiddwako, ab’ekitingole ki kitongole ki Here for her foundation bwekibadde kikyaliddeko abayizi ku ssomero lya St. John Leonard e Luwafu mu Mpigi okubatwalira pads wamu n’okubabudaabuda mu mbeera ez’enjawulo.