Okufuna obujjanjabi e Katakwi otambula kilo meter 25 okutuuka ku ddwaliro
Mu disitulikiti y’e Katakwi okufuna obujjanjabi ositaana anti olina okutambula miyiro ezitakka wansi wa 25 okutuuka ku ddwaliro. Wano abakazi ab’ebunto abasinga obungi eby’okuzaalira mu ddwaliro babivaako olw’olugenda oluwanvu nga n’entambula ebatusaayo tebagyirina nga kuno kwogatta n’enguudo embi. Kino kitegeeza nti n’abaana abasinga obungi tebagemebwa.