OKUDDUKANYA ESSAZA LY'E KYADONDO: Akakiiki k'asbantu 18 katongozeddwa
Minisita wa gav’t z’ebitundu e Mengo Owek. Joseph Kawuki akuutidde abakulembeze mu ssaza ly’e Kyadondo okukolagana ennyo n’abantu ba Ssabasajja mu ssaza lino basobole okukulaakulanya essaza lyabwe.
Okwogera bino abadde attongoza olukiiko olugenda okuddukanya essaza lya Kyadondo olulondeddwa omwami wa Kabaka alitwala Kaggo Sarah Nantaayi.