Ogwa Ssegirinya ne Ssewanyana gwongezeddwayo, omuwaabi wa gav't akyanoonya bujulizi
Kooti ento ey’emasaka nga ekubirizibwa omulamuzi Christine Nantege ne leero eyongezezaayo olunaku lw’okuwulira omusango oguvunaanwa ababaka okuli Muhammad Ssegirinya ne Allan ssewanyana okutuusa nga 19 omwezi guno. Kino kiddiridde omuwaabi wa gavumenti Richard Biriivumbuka okutegeeza kooti nga nakati bwebatanaweza bujulizi bumala kulumika babaka bano ku misango egyabaggulwako. Kyoka omulamuzi abasabye banguye okuwumbawumba okunonyereza kwabwe omusango guno guve mu diiro.