OBY'OKUKEBERA ABANTU TUBISAZIZZAMU : Minisitule y'ensonga z'omunda yekubye engalike
Ekitongole ky’ensonga z’omunda mu ggwanga kisazizzaamu eby’okukebera abantu abatwalibwa ebweru okusooka okubakebera ebitundu byabwe eby’omunda nga bwekyali kitegeezeza.
Kino kyaddirira emiango okweyongera egy’abantu abagamba nti bagyibwamu ebitundu byabwe okweyongera - kati okusinziira mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga kino tekijja kusoboka olw’obuseere bw’okukebera ebintu bino.