Obutakkaanya mu FDC - Ekiwayi ekikulirwa Besigye kituuzizza ttabamiruka
Bannakibiina ki FDC ekiwayi ekigugulana n’obukulembeze bwa Patrick Amuriat olwaleero bakoze ttabamiruka wabwe mwebalondedde obukulembeze obupya. Bano abakulembeddwa Dr. Kizza Besigye ne Ssentebe wa FDC Eng. Wasswa Biriggwa kko n’ebannakibiina balonze abadde amyuka pulezidenti w’ekibiina kino mu Buganda Erias Lukwago kubwa pulezidenti ow’ekiseera.