OBUNKENKE E BUKOMANSIMBI : Waliwo abantu abatambula mu kiro n'emundu
Omuduumizi w’e nkambi y'amagye e Kasijjagirwa, Brig. Deus Sande, n’aduumira poliisi e Masaka Paul Nkole n’abakulembeze basisinkanye abatuuze b’e Bukomansimbi oluvanyuma lw’okuguna okwemulugunya olw’abantu abatambula mukiro ne mundu nga ate sibabyakwerinda.
Kati bano balabudde bwebagenda okusuula enkesi abantu bano bakwatibwe banyonyole gyebajja emundu ne byebazikozesa.