OBUBBI BW'AMASANTALAZE: Waliwo basatu abakwatiddwa e Myanzi –Kasanda
Poliisi e Myazi mu disitulikiti y’e Kassanda eriko abavubuka basatu beyakutte mukiro nga kigambibwa baabadde babba waya z’amasanyalaze.
Kino kyadiridde abatuuze okutemya ku poliisi nga beekengedde abavubuka bano, abakwatiddwa kuliko Daniel Kyagaba, Jordan Sekidde ne Rasul Magola.
Omu ku bavubuka bano yasangiddwa ali waggulu ku kikondo ky’amasannyalaze n’ekitaala.