Nnagereka awabudde abakyala ku kuzaala ennyo
Nnaabagereka wa Buganda Sylvia Nagginda akalaatidde abakyala mu Buganda okwewala okuzaala abaana bebataasobole, ekibaviirako n’okukonziba. Nabagereka bino abyogeredde ssemuto mu disitulikiti ye Luweero ewaategekeddwa olunaku lw’abakyala mu Buganda.