NFA: Essira ly'okukuma obutonde bwensi elitadde on bayizi bamasomero
Gav’t ng’eyita mu kitongole kyayo eky’ebibira ki National Forestry Authority [NFA] essiro ly’okutaatira obutonde bwe nsi n’okukuuma ebibira balyolekezza mu masomero n’ekigendererwa ky’okulaba nga abaana abato olutalo luno balwenyigiramu. Stuart Maniraguha akulira ekitongole ki NFA ategeezeza nga ebibira binji bwebisanyiziddwawo nga nabwekityo abaana abato bakuyambako mukubunyisa enjiri y’okusimba emiti okuviira ddala ku masomero n’eku byalo gyebawangaalira.