Mpuuga ategeezezza nga bwagenda okukunga babaka banne
Mathias Mpuuga omubaka wa Nyendo Mukungwe, ategeezezza nga bwagenda okukunga babaka banne, bannakyewa nebannabyabufuzi, okulaba nga wabaawo ennongoosereza mu tteeka erirung’amya eby’okulonda. Agamba nti ebimu ku birine okwekenneenyezebwa gw’emulimu gw’amajje mu kulonda, n’enkola ennambulukufu ku geri obukulembeze gyebulina okukyusibwamu mu mirembe. Okwogera bino abadde ayogerako eri bannamawulire mu palamenti.