Kkooti egobye okusaba kwa Besigye okw'okweyimirirwa
Kooti ejulirwamu egobye okusaba okweyimirirwa kwa Dr. Kiiza Besigye nga ategeez nga bwebaabuse emitendera egilina okuyitibwamu okusaba okweyimirirwa. Ba looya ba Dr. Besigye badde bazze n’abagenda okumweyimirira nga kubano kubaddeko n’emukyala we Winnie Byanyima, loodi meeya Erias Lukwago n’abalala. Kkooti bwegobye okweyimirira kuno, ba puliida ba Besigye nebategeeza nga kkooti bwezinira ku ntoli z’abantu abalala.