Kampuni ezikunganya kasasiro mu Kampala zisisinkanye aba KCCA
Mukaweefube w’okulaba nga kasasiro mu kibuga Kampala kisalirwa amagezi, KCCA esisinkanye kampuni ez’enjawulo ebikola ogw’okuyoola kasasiro mu Kibuga.
Kati bano baagala buli kampuni ebeereko ekika kya kasasiro gweyola nga amanyikiddwa.
Baagala kampuni etwala amakyupa ebeera nga etwala ggo gokka n’endala zitwale ebirala olwo nebanaasobola okugatta omutindo ku kasasiro ono.