Kaggo akubiriza abantu ba Ssaabasajja mu Kyadondo
Omwami wa Ssabassajja Kabaka Kaggo w’essaza ly’e Kyadondo Agness Ssempa Nakibirige nga aliwamu nabaami ba Ssaabasajja abalala, balambudde emirimu egikolebwa abantu ba bbeene mu ssaza ly’eKyadondo. Kawefube ono, agendererddwamu kulaba nga abantu ba ssabassajja kabaka basomesebwa ku ngeri gyebalina okwejja mubwavu nga bakola ebintu ebyenjawulo. Mwebalambudde mwemuli ne factory ye byenyanja eya Dr. Vincent Ssenabulya e Ggangu mu Wakiso.