Kadaga atendereza Spark TV okukyusa obulamu bw'abantu
Amyuka Ssaabaminisita asooka Rebecca Alitwala Kadaga yatendereza Spark tv nga eyita mu mawulire gaayo Agafa Eyo okutumbula embeera z’abantu n’okuduukirira obutonde bwensi. Okwogera bino yabadde ku somero ly’e Kavule mu ggombolola y’e Namasagali e Kamuli ku bikujjuko bya Agafa Eyo ku Spark Tv nga gaweza emyaka 5 nga baweereza bannayuganda. Eno baasimbye emiti, abantu bajjanjabiddwa mu lusiisira lw’eby’obulamu n’ebintu ebirala bingi.