Gavumenti ewadde ba namagoye obuwumbi 17 mu mbalirira
Gavumenti ya Uganda eriko obuwumbi 17 bweyatadde mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’eby’ensimbi guno okulabirira abantu abamanyiddwa nga bannamagoye. Tukitegedde nti ensimbi zino zakuyambako mu kusomesa abantu abalala ku kikula ky’abantu bano, kko n’okubatusaako ebizibu kko n’okubagulira byebetaaga mu bulamu nga abantu abalala. Bannakyewa bagamba nti abaana bano nakati bakyayita mu kusomoozebwa okwabuli kika, ekibalemesezza okweyagalira mu bulamu nga abalala.