Gavumenti eteekateeka okutunda amasannyalaze e DRC n'e South Sudan
Gavumenti etegeezeza nga bwetunuulidde eky’okutunda amasannyalaze mu ggwanga lya Congo ne South Sudan , ng’omu ku kaweefube w’okukendeeza ku bungi bw’amasanyalaze agatakozesebwa.
Bagamba nti olw’okuba amasannyalaze geetumye n’ebeeyi yaago eri waggulu, kale nga okugatunda e bweru lyeggezi lyokka okukendeeza ku bbeeyi yago. Okwogera bino babade bajjukira sabiiti y’eby’amasanyalaze emanyiddwa nga Energy week.