ETTAKA LYA ZZANA CENTRAL MARKET: RDC ayimirizza ebibadde byagalwa okukolebwako
Amyuka RDC wa Makindye Ssabagabo Mark Baigana ayiise olukiiko okugonjoola obutakaanya obuliwo wakati wabasuubuzi n’abakulembeze b’akatale ka Zana Central Market ku ttaka eryabagulirwa pulezidenti Museveni. Byonna ebibadde byagalwa okukolebwa abakulembeze ku ttaka lino RDC abiyimirizza.