ENTIISA E MIITYANA: Omukazi agudde n'afiiraawo
Entiisa ebuutikidde abatuze ku kyalo Bbuye Kikumbi mu divizoni eya Busimbi e Mityana omukazi bw’asirittuse n’agwa ekigwo ekimutiddewo. Enfa eno ey’ekibwatukira etiisiza abatuuze, nga balowoza nti yandiba ng’afude Ebola Omulambo abasawo nga bayambibwako poliisi bagututte okugwekebejja bazuule ekyamusse.