Ensimbi z'abasawo zirabise, Ministule egamba zibaweebwa akadde konna
Minisitule y’eby’ensimbi ekakasiza nga minisitule y’eby’obulamu bwebawandiikidde nga ebasaba ensimbi obuwumbi 35 ez’okusasula ensako y’abasawo. Tukitegedde nti newankubadde bano baasaba enyongereza mu November w’omwaka guno, babade tebagenda nga mu minisitule ya nsimbi kuzisabayo n’okutuusa olwaleero. Minisitule y’eby’ensimbi ekakasiza nti ensimbi zino ziwedde okutekateeka era nga abasawo baakuzifuna akadde konna.