Enkuba etabudde abatuuze e Masaka, omukadde afudde
Namutikwa w'enkuba eyatonnye eggulo yakosezza ebyalo ebiwerako e Masaka. Yyo e Butale mu ggombolola y’e Buwunga abaayo yabalese mu maziga oluvanyuma lw’okubattamu omuntu mulamba eyakubiddwa ekiyinja ekyavudde ku nyumba yye. Mukiseera kino bano basaba buyambi. Ate mu Kampala aba Boba boda bakyali ku muyiggo gw’amunaabwe gwebagamba nti yagwa mu mwala e Kibuli nga bamusubiira okuba nga yaggukira mu Nakivubo channel.