ENKOLA YA PARISH DEVELOPMENT MODEL :Katikkiro balabudde abagirimu ku bulyake
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde gavumenti okwewala ebikolwa ebyefananyirizaako eby’obulyake mu ntekateeka empya ya Parish Development Model. Okwogera bino katikkiro abadde asisinkanye omukwanaganya w’e nteekateeka ya Parish Development Model Denis Ssozi Galabuzi kko ne bannakiniina ki NRM okuva mu Buganda abamukyaliddeko ku mbuga e mmengo. Katikkiro ababuulidde nti abantu ba kabaka batera okwekengera enteekateeka yonna keebe ya nkulaakulana, singa bakizuula nga abagikulembedde balyake.