ENKAYANA KU TTAKA: E Bukakata abasoba mu 500 bagobaganyizibwa
Abatuuze abawangaalira ku kyalo Kasokero mu gombolola y’e Bukakkata mu Masaka beekubidde enduulu olw’okugobaganyizibwa ku ttaka abeeyita bannanyini lyo n’okutwala ebibanja byabwe.
Mulukiiko oluyitiddwa olw’etabiddwako ababaka b’ekitundu kino, abatuuze balumiriza ssentebe w’ekyalo kyabwe okwekobaana n’ababagobaganya.