Akamyufu ka NRM: Tanga agamba buli kimu kiwedde era twetegese
Abakulira akakiiko ke by’okulonda mu Kibiina ki NRM balabudde nga bwebatagenda kulonzalonza kusazaamu kulonda mubifo ebinazuulwa nti bibaddemu emivuyo.Akulira akakiiko kano Tanga Odoi agambye nti bbo nga akakiiko bakoze ogwabwe okukakasa nga okulonda kuba kwa mirembe, kale nga abaneesigiriza si baakuttirwa ku liiso.Okwogera bino babade baweereza ebigenda okukozesebwa mu kulonda kuno , okwokubeera mu ggwanga lyonna.