ENKAAYANA KU TTAKA E MPIGI: Waliwo abaagala okutwala awafuuyirwa ente
Abalunzi okuva mu miruka 4 mu gombolola y’e Nkozi mu disitulikiti y’e Nkozi bali mu kabiga olw’abantu abaagala okuwamba ekifo webafuuyirira ente zaabwe ekyabaweebwa mu myaka gye 70. Ettaka okuli ekifo kino kyabaweebwa omu ku batuuze ne kizimbibwa gavumenti y’omugenzi Idi Amin Daada, kyoka kati waliyo abeesowodeyo nga bagamba nti ettaka lino lyabwe - bbo kyebawakanya. Abagambibwa okwagala okutwala ettaka lino tebasobodde kufunika.