ENDAGAANO KU MMWANYI: Abamu begenze mu kkoti: Museveni ayise ababaka
Bannamateeka babiri abadukidde mu kkooti enkulu enkya ya leero nga baagala esazeemu endagano eyakolebwa wakati wa gav’t ya Uganda ne musinga nsimbi Enirika Pineti okuba n’obuvunanyizibwa obw’okusubula n’okutuunda emwaanyi mu gwanga.
Bannamateeka bano Henry Byansi ne Micheal Aboneka bagamba minisita w’eby’ensimbi Matia Kasaija yateeka omukono ku ndagano eno ku lwa gav’t ya Uganda nga tasoose kwebuza ku bekikwatako.