Ekisamba e Kasensero: Abavubi basobeddwa eky'okukola
Abavubi ku mwalo gw’e Kasensero balaze okutya oluvannyuma lw'okulumbibwa e Kisamba kyebagamba nti tekikyabaganya kugenda ku nyanja kuvuba.
Kitegeerekese nti ekisamba kino kimaze ebbanga lya mwezi mulamba ku mwalo guno nga kati abavubi kizibu okukiyisaamu amaato gaabwe.