Ebisolo ebitaayaaya e Mityana: Bannyinibyo ba kuvunaanibwa
Abakulembeze mu munisipaali ey’e Mityana basabye abatuuze okusiba ebisolo byabwe, birekere awo okutaayaayiza mu kibuga.
Okusinziira ku meeya w’ekibuga Faustin Mukambwe Lukonge, singa abantu beerema okusiba ebisolo byabwe byakukolwako nga amateeka bwegalagirwa, kubanga nga oggyeeko okujamawaza ekibuga, bireeta n’obubenje.