EBBEEYI YA SABUNI NE BUUTO OKULINYA: Bannamakolero bagamba kivudde ku bbula lya binazi
Bannamakolero abeegattira mu kibiina ki Uganda Manufacturers Association bagamba ebeeyi ya sabuuni ne butto eyekanamye evudde ku bbula ly’ebinazi byebasuubula okuva mu mawanga nga Indonesia ne Malyasia. Amawanga gano gateeka ekkomo ku binazi ebitundibwa ebweru wa mawanga gano, songa nebirimwa mu uganda bitono nnyo okuvaamu butto ne sabuuni amala mu Uganda. Kino kireetedde abasuubuzi okusaba gav’t ebakkirize okusuubula ebintu bino ebweru w’eggwanga ku beeyi eyawansi kko okusinga byebasuubula ku makampuni gaawano.