E Njeru abawangaalira ku lubalama lw’omugga Kiyira balabudde gav’t obutakwata ku ttaka lyabwe
Abatuuze mu munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe abawangaalira ku lubalama lw’omugga Kiyira balabudde gav’t obutakwata ku ttaka lyabwe olw’enkulaakulana zeeyagala zikolebwa mu ku mugga guno nga tebaliyiriddwa. Gav’t erina enteekateeka ya myaka 20 okukulaakulanya olubalama lw’omugga guno - are nga olwaleero abatuuze bakedde mu lukiiko ne minisita w’eby’obulambuzi Tom Butime okwongera okubangulwa ku nteekateeka eno.