E Nakuwadde, abatuuze beezoobye ne poliisi
Poliisi eridde matereke n’abatuuze ku kyalo Nakuwadde Bbira mu disitulikiti y’e Wakiso bw’ebadde egenze okunona omulambo gw’omusajja eyategerekeseeko erya Magambo agambibwa okufa akawungeezi k’eggulo. Okusinziira ku batuuze abakumye ekyooto nga bakungubagira omugenzi, bagamba yakutuse oluvanyuma lw’ekitongole ki NEMA okuteka laama ku nyumba ye nti yazimba mu lutobazi era yaakusendebwa. Poliisi bino ebisambazze nti ono yafudde kirala era nga omulambo gwe gutwaliddwa okwekebejjebwa.