E Mpigi, ab'ebyokwerinda bayingidde mu by'okugema omusujja gw'e nkaka
Abakulira eby’okwerinda mu disitulikiti ye Mpigi bakedde mu masomero ag’enjawulo okusomesa abasomesa n’abayizi ku musujja gw’enkaka, nga kidiiridde abagakulira okusooka okusimbira ekkuli entekateeka eno olunaku olw’eggulo. Abaakuliddemu okugema mu disitulikiti bagamba nti baasanze akaseera akazibu okugema abaana baayo, nga n’amasomero agamu gaabasibidde ebweru.