E LWENGO BASATTIRA: Babasulidde ebibaluwa ebibatiisatiisa okubatta
Waliwo obweraliikirivu obubaluseewo mu disitulikiti y’e Lwengo oluvannyuma lwa bantu abatannategeerekeka abasudde ki kiro kitwala omunaku nga batiisatiisa okutta abantu naddala abanyarwanda saako n’ab’ebyokwerinda mu disitulikiti eno. Poliisi eyise olukiiko olw’amangu ku kyalo gyebaasudde ekiwandiiko kino n’ebagumya abatuuze wabula nebabasaba okubawa amawulire okusobola okuyigga abantu bano.