E Lukaya waliwo abatuuze abalaajana: Waliwo gwe balumiriza okubatira muwala waabwe
Ku kyalo Kulubya ekisangibwa e Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu waliwo abooluganda abatabukidde omusawo we kinnansi nga bamubanja muwala waabwe eyabula , bbo gwe bagamba nti ayinza kuba nga yattibwa omulambo ne gukwekebwa.
Bagamba nti omusajja Muzamir Mugabi Gaboggola yandiba nga yatta muwala waabwe Maria Teddy Namugga kubanga yali eyali muganziwe, kyoka poliisi bweyakoze okunonyereza omusango yaggudewo gwa kubula.
Bano poliisi e basabye okusigala nga bakakkamu.