E BUSIA EMIRIMU GISANNYALADDE: Bangi bagoberera kuabla bululu bw'e Kenya
Bannayuganda naddala abawangaali ku nsalo ya Uganda ne Kenya oyinza okugamba olwaleero emirimu baagivuddeko bali mukugoberera bigenda mu maaso mu ggwanga lya Kenya gyebali mu kugatta obululu ku kifo kya pulezidenti. Obwedda buli awali tv wooyita nga bataddeko TV z’e Kenya okulaba ebigenda mu maaso, ku siteegi za bodaboda yonna emboozi eriyi yaani akyaleebya munne. Obwedda n’abatalina tv nga ebigenda mu maaso babirabira ku masimu gaabwe.