E Bugiri balajaana olw'ebbula ly'amazzi
Amasomero agasukka mu nkaaga mu disitulikiti y’e Bugiri bamazze ebbanga nga balajaana olw’ebbula ly’amazzi. Bwekituuka ku baana abawala bangi bavudde mu masomero olw’okubulwa amazzi gebakozesa naddala nga bali mu nsonga zaabwe. Kati bano oyinza okugamba bafunye ku buweerero oluvanyuma lw’ekitongole ky’amazzi ki National water and Sewarage coporation okukwatagana n’ekitongole ki SICPA okufunira amasomero agamu amazzi.