EMIZANNYO GY’EBIKA BY’ABAGANDA :Abali waggulu w’emyaka 35 beetabye mu gy’aleero
Ekika ky’omusu kye kiwangudde ekikopo mu mpaka z’omupiira gw’abali waggulu w’emyaka 35 mu bika bya Baganda ezisookedde ddala . Mu ngeri y’emu Akasimba kamezze Omutima omusagi mu muzannyo gw’okusika Omuguwa guyite tag of war ate enkima n'ewangula Omweso. Guno gwe mulundi ogusoose obwakabaka bwa Buganda okutegeka empaka ekikula kino n'ekigendererwa eky'okuwa omukisa buli omu okuzannyira ekika kye.