“Ennyanja Efa”: Abavubi beekubidde enduulu ku makolero agafulumya obukyafu
Abantu abawangalira kubizinga bye Massese bakukkulumidde bannanyini makolero abagufudde omuze okuyiwanga ebikyafu munyanja bo mwebafuna ekyokulya.Bano bagamaba nti ebikyafu ebiva mumakolero agaliranye enyanja biviiriddeko nebyenjanja okuffa. Kati baagala abavunanyizibwa kunsonga z’obutondde okusittukiramu babataase embeera.