BULUNGI BWA NSI E BUWAMA : Abatuuze baakuyoja ebyalo byabwe mu mwetoloolo
Abakulembeze n’abatuuze mu muluka gw’e Bongole mu tawuni kanso y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi batongozza kaweefube w’okukola bulungi bwansi mu byalo byabwe buli lwakusatu. Bano baakuyonja kyalo ku kyalo munkola ya mwetoololo - Ssentebe w’omuluka Bongole Prossy Nakitooke atubuulidde engeri gyebafunamu ekirowoozo kino.