Bannakyeewa bakutandika okubudaabuda abavubuka okulwanyisa obumenyi bw'amateeka
Bannakyewa abatakabana okuwolereza abataliiko mwasirizi baagala kusisinkana baana abeetaba mu buzzi bw’emisango bamanye ekibawaliriza okwetaba mu misango gyino kko n’okubabudabuda.
Bagamba nti bangi ku baana bano bagwana kubudabuda, kko nokumanya ebibasindiikiriza okwetaba mu bumenyi bw’amateeka nga buno, mu kifo kyokubasalira emisango.
Bino byogeddwa eb’ekitongole LASPNET bwe babade basisinkanye abakulembeze nabakuuma ddembe e Wakiso okusalirawo wamu amagezi ku ngeri y’okulwanyisaamu obuzzi bwemisango mu baana.