Ba kansala b'e Mpigi bawakanya okwongera ettendekero lya Katonga enyongereza
Bakansala e Mpigi kata bagwangane mu malaka mu kanso ebadde eggalawo emirimu gya disitulikiti egy’omwaka guno nga entabwe eva ku nsimbi obukadde 40 ez’enyongereza ezibadde zaagala okuyisibwa okuweebwa ettendekero ly’e mikono erya Katonga Technical Institute bakansala kyebawakanyizza. Bano okuyisa ensimbi zino babadde baagala basooke kuweebwa mbalirira y’okukadde 100 obwasooka okubaweebwa.