Alfred yetaaga obukadde 150 okulongosebwa, ekirwadde ky’ensigo kimutawaanya
E Namugongo waliwo omuvubuka Alfred Adibaku wa myaka 23 ali ku ndiri, ekirwadde ky’ensigo kimutawaanya. Abasawo baamutegeeza nti alina kulongoosebwa mu ggwanga li India ku bukadde bwa Uganda 150. Tukitegedde nti omuntu agenda okumuwa ensigo yamufunye, kyoka ensimbi nakati zikyamulemye okuweza newankunadde asonzeeko obukadde 30.