Abe Masindi beekokkola oluguudo lwa bisso
Abatuuze abakozesa oluguudo lwa Bisso e Masindi embeera ebabijjiridde oluvanyuma lw’oluguudo luno okwonooneka ebitagambika ekyongedde obubenje. Bagamba nti baludde nga bayita mu mbeera eno okutuusa gav’t lweyali ng’ebajjukidde n’ereeta abakola ekkubo lino wabula nga nabo ebikola baabisulawo dda olw’obutasasulwa musalaa gwabwe kati gwa myezi 3. Embeera eno yeeyongedde okutabuka nga olutindo lwa Karuma lugaddwa.