Abawangaalira ku mwalo e Masaka baagala gav’t ebadduukirire n’obutimba.
Abantu abawangaalira ku myalo e Masaka amazzi gazeemu okuyingira mu nyumba zaabwe olw’enkuba ettonya obutakya. Nga ogyeko amazzi okubabuza aw’okusula ate bali mukutya olw’okulumbibwa omusuzza olw’ensiri ezibaluma emisana n’ekiro. Kati baagala gav’t ebadduukirire n’obutimba.