Abavuganya ku bwa pulezindenti baweze okukuuma akalulu
Abavuganya ku bwa pulezidenti ab’egattira mu kisinde ki United forces of Change baweze nga bwebagenda okulwana okukuuka ejjembe okulaba nga mpaawo yeetaba mu kibba bululu.
Bano okuli owa FDC, NUP ne ANT bagamba bagenda kugatta amaanyi mu kukuuma akalulu, kyokka nebateeka akakiiko k’eby'okulonda ku ninga okukakasa nti okulonda kuno tekubaamu mivuyo.