Abavubuka ba Buganda bavudde mu mbeera lwa nneyisa y'abakumaddembe
Abavubuka ab’enjawulo mu bitundu bya buganda eby’enjawulo bavudeyo okulaga obutali bumativu bwabwe olwa poliisi okulumba Embuga y’eky’e Kika ky’e Mbogo e Mugulu mu Singo nebakuba omukka bantu abaali bakungaanye okwebwaza omutonzi olw’obuweereza bw’a akulira ekika kino Kayiira Gajuule okukulembera olukiiko lw’abataka.
E Kampala wabaddewo ensitaano ne poliisi n’oluvanyuma basisinkanye Katikkiro okutuusa okwemulugunya kwabwe.
Ate e Mityano Poliisi egobaganye nabo era abamu ne bakwatibwa - yo e Ntebe mu Busiro bawezze obutaddamu kwambala ngatto okutuusa nga akulira Poliisi yeetonze olw’ekikolwa kino.