Abasuubuzi e Mubende balopye ebizibu byebayitamu
Abasuubuzi e Mubende balopedde atwala ekibiina ki Federation of Uganda Traders Association (FUTA) John Kabanda ebizibu byebayitamu mu mulimu gwabwe. Bano ababade mulukung’aana lw’abasuubuzi akawungeezi k'egulo mu town y’e Kasambya e Mubende beemulugunyiza kubeeyi y’ebirime ekyukakyuka n’omusolo okusukiridde. Bano era beemulugunyiza ku kiteeso ky’okuwandiisa abalimi b’emmwanyi nti kano kandiba akakodyo ak’okusuula e mmwanyi mu ggwanga.