Abakungu basomesezza abalunzi b'e Nakasongola nkozesa entuufu ey’eddagala
Abakugu okuva mu minisitule ye by’obulamu kko n’ebyobulimi basiibye Nakasongola nga basomesa abalimi ku nkozesa entuufu ey’eddagala. Okusitukiramu kidiridde okukimanyaako nti abalunzi bakozesa eddagala nga tebamaze kwebuza ku basawo, ekiriviirako obutakola ku nsolo zaabwe. Bbo abalunzi obuzibu babutadde ku ddagala ekyamu erisusse ku katale.